Allen Kagina
| Ekikula | mukyala |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda Protectorate |
| Erinnya eriweereddwa | Allen |
| Yazaalibwa nga | 1961 |
| Gy'azaalwa | Yuganda |
| Sibling | Lorna Magara |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | business executive, official |
| Gyeyasomera | University of Liverpool, Ssettendekero wa Makerere, Gayaza High School, Uganda Christian University |
| Gyabeera | Kampala |
Allen Catherine Kagina munnayuganda addukanya emirimu era akulira ebitongole. Yaliko akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu ggwanga ekya Uganda National Roads Authority (UNRA). Yalondebwa ku kifo ekyo nga 27 Ogwokuna 2015 era n'aggyibwa ku mulimu nga 23 Ogwekkumineebiri 2024.[1] Ekyo nga tekinnatuuka, okuva mu 2004 okutuuka mu 2014, yaliko Kaminsona Omukulu w’ekitongole ekisolooza omusolo ekya Uganda Revenue Authority (URA).[2]
Ebyafaayo bye n'obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu mwaka gwa 1961 mu Disitulikiti y'e Rukungiri, nga Disitulikiti eno esangibwa mu bitundu by'omu Bugwanjuba bwa Uganda, eri Hezron ne Catherine Kakuyo mu 1961.[3][4] Kagina yasomera ku ssomero ery'ettutumu ate nga lya kisulo erimanyiddwa nga Gayaza High School, eriri ku musingi gwa bwassekyewa era nga lya bawala bokka. Alina ddiguli mu Bachelor of Science in psychology gye yafunira e Makerere University era nga ye ssettendekero esinga obukulu mu Uganda ate ng'eri ku musingi gwa gavumenti. Mu ngeri y'emu, alina ddiguli eyookubiri mu by’okuddukanya emirimu gya gavumenti ( Masters in Public Administration) gye yafunira mu University of Liverpool e Bungereza.[5] Yafuna diguli eyookubiri mu by'obukulembeze n'okuddukanya ebitongole nga 30 Ogwekkumi 2015 okuva mu Uganda Christian University, e Mukono, Uganda.[6]
Obukugu bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Kagina yatandika emirimu gye mu mwaka gwa 1985 ng'akola ng'omuyigisa omuyambi (teaching assistant) ku Ssettendekero Makerere (Makerere University). Oluvannyuma yafuna omulimu ku Woofiisi y'omukulembeze w'eggwanga. Mu mwaka gwa 1992, Kagina yeegatta ku kitongole kya URA ng'akola nga ofiisa akulira ebyemisolo mu kitongole kino, ng'eno yakolerayo okutuusa mu mwaka gwa 1998. Yalinnyisibwa eddaala mu mwaka gwa 2000 n'aweebwa ekifo ky’obumyuka w’omukulu avunaanyizibwaku kusolooza emisolo ku bintu ebiva ebweru w’eggwanga mu kitongole kya URA, n'akakkalabya emirimu gye okutuusa mu mwaka gwa 2001. Yaweebwa omulimu gwa commissioner general mu kitongole kya URA mu 2004.[5] Atenderezebwa okuba yasobola okuyimusa ekitongole kino mu byenfuna. Mu mwezi Ogwokubiri, mu mwaka gwa 2006, Kagina yaweebwa ekirabo (Corporate Leadership Award) okuva mu kibiina ekimanyiddwa nga, Destiny Consult[7], nga kimusiima okusitula omutindo n'enkola y'emirimu mu kitongole ekisolooza omusolo okuva lwe yakwasibwa obuvunaanyizibwa bw'okukulira ekitongole ekyo mu mwaka gwa 2004.[6] Mu mwezi Ogwekkumi, mu mwaka gwa 2010, endagaano ye yazzibwa buggya, n'ayongebwa emyaka emirala esatu. Nga 27 Ogwokuna 2015, Mminisita wa Uganda eyali avunaanyizibwa ku byemirimu n'entambula mu kiseera ekyo, John Byabagambi, yamuwa ekifo ky'okukulira ekitongole kya UNRA, era nga yali wakutandika kukakkalabya mirimu gye mu kifo kye ekiggya okutandikira ddala ng'ennaku z'omwezi 1 Ogwokutaano, 2015.[1]
Ebimukwatako ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Allen Kagina mufumbo eri Paul Kagina. Awamu, bazadde eri abaana basatu; Dan, Michelle ne Mark. Allen Kagina mukyala mulokole.[5]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Edward Larbi Siaw
- Elly Rwakakooko
- Stephen Besweri Akabway
- Annebritt Aslund[8]
- Doris Akol
- John Musinguzi Rujoki
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Nelson Bwire (27 April 2015). "Allen Kagina To Head UNRA". Daily Monitor. Kampala, Uganda. Retrieved 27 April 2015.
- ↑ Kaujju, Peter (24 March 2007). "More Changes In URA". New Vision. Kampala. Archived from the original on 28 May 2019. Retrieved 20 October 2016.
- ↑ "Hezron Kakuyo, Father to UNRA's Allen Kagina Dies at 93". Online news from Uganda and the East African region - SoftPower News (in American English). 2019-02-28. Retrieved 2019-03-30.
- ↑ Shifa Mwesigye (2 January 2011). "Despite Its Rich Profile, Rukungiri Wallows In Poverty". The Observer (Uganda). Kampala, Uganda. Retrieved 8 June 2014.
- 1 2 Dorothy Nakaweesi (29 June 2010). "Allen The Tax Collector And Mother". Daily Monitor. Kampala, Uganda. Retrieved 13 May 2014.
- ↑ Campusbee Uganda (2016). "Top prominent UCU alumni……number five will shock you!". Campusbee.ug. Kampala, Uganda. Retrieved 14 July 2022.
- ↑ https://destinyconsultug.com/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1318359/ura-boss-dead
Emikutu emirala
[kyusa | kolera mu edit source]· URA eluubirira okuyingiza obuwumbi lukaaga n'obukadde bisatu (UGX:6.3 Trillion (US$2.7 Billion) mu mwaka gw'ebyenfuna:2011/2012
- CS1 American English-language sources (en-us)
- Abakyala ba Uganda
- Abayizi abaaliwo mu Yunivasite y’e Liverpool
- Abasomerako e Gayaza High School
- Abantu abava mu Disitulikiti y'e Rukungiri
- Abayizi abaaliwo mu Uganda Christian University
- Abayizi abaaliwo ku yunivasite y’e Makerere
- Bannayuganda abakyaala nga ba Chief Executive
- Bannayuganda nga ba Chief Executive
- Abantu abalamu
- Abazaalibwa mu 1961